Olugero luno lwebulungulira ku Lukowa, Mulekwa, nnyina gwe yakuza
obw’omu. Enneeyisa Lukowe mu ssomero mwe yasooka okusoma teyali nnungi
n’agobwa; naye yatereera bwe yadda mu ssomero eddala eddene, n’afuuka na
mugezi. Wabula ate eyo omuwala Kabanswere yamwegwanyiza, Lukowe
n’amufunyisa olubuto. Eyo nayo ne bamugobayo. Yaddukira e Kampala gye
yakwanaganira ne Zikusooka eyali omubbi, n’atendeka Lukowe mu muze ogwo.
Lukowe yazuula mwannyina Birungi, n’asanyuka, n’azzibwa ne mu ssomero.
Oluvannyuma Birungi yeefunira omusajja n’amuwasa; wabula yatwala Lukowe
gye yafumbirwa, nayeLukowe eyo teyabandaalayo, mukoddomi we nga
tamwetaaga. Gye yalaga nadda mu bwenzi n’okutamiira ebisukkiridde. Eyo
gye yattirwa; omulambo gwe baagusanga mu musiri gwa bijanjaalo!
Olugendo lw’Obulamu
UGX 27,000
Reviews
There are no reviews yet.