Tokiiya Nnonge Nto

UGX 11,000

Olugero luno lukwata ku mwana omulenzi eyakulira mu mikono emingi
n’atafuna mukisa kukuzibwa bazadde be bombi mu maka gaabwe, okwo
n’assaako n’okuyigira mu masomero amangi ag’enjawulo mu by’ensomesa,
bw’atyo n’afuna eŋŋunjula gye twandiyise eya ‘‘matankane’’. Omwana ono
yakuzibwamu ekyejo, ate awamu n’abonyaabonyezebwa nnyo, awalala
n’atuntuzibwa, kyokka n’ayiga okukola emirimu. Naye oluvannyuma
yeerwanako n’atereera, n’asoma bulungi era ku nkomerero n’avaamu omusajja
omuyigirize era omukozi. Mu lugero luno tuyigiramu bingi, era Omuwandiisi
ono ayanukudde bulungi kaweefube Ssabasajja Kabaka Muwenda Mutebi II
gwe yalangirira ng’akubiriza Abaganda abayigirize okuwandiika ebitabo
ebikwata ku masomo gonna ag’omugaso, ku mpisa n’ennono z’Abaganda mu
lulimi Oluganda olw’okwekulaakulanya.

Reviews

There are no reviews yet.

Be the first to review “Tokiiya Nnonge Nto”

Your email address will not be published. Required fields are marked *